Jump to content

Sodiyamu(Sodium)

Bisangiddwa ku Wikipedia
sodiyamu

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Akaziba ka sodiyamu era kayitibwa Atomu ya Sodiyamu (sodium atom).

Sodiyamu k'akaziba(atomu) akalina obukontanyo 11 ne nampawengwa 12 mu buziizi bwako(its nucleus) n’obusannyalazo 11 obwetoloola obuziizii bwako. Okufaanana buziba(atomu) bulala obuwewufu nga kaboni, sodiyamu atondekebwa(akolebwa) manda mu njuba ezitandiikiriza okuggwamu amafuta n’alyoka amansuka buli wamu mu bwengula ng’enjuba eyo ebwaatuse n’efuuka semufu (supernova).

Kubanga akaziba ka sodiyamu kalina akasannyalazo kamu kokka mu kire kyako ekisembayo ku ngulu, kakwatagana mangu n'obuziba(atomu) obw’ebika ebirala okukola molekyu. Sodiyamu tasangibwa ku bubwe mu butonde.

Akaziba ka sodiyamu(Atomu ya Sodiyamu), naddala kakwatagana mangu ne kololiini kubanga sodiyamu yetaaga kuviibwako akasannyalazo kamu okuggumira ate nga kololiini yetaaga kufuna akasennyalazo kamu okuggumira. N’olwekyo nga sodiyamu ne kololiini zegasse, kizibu okubikutulamu. Enkwaso(bond) ya sodiyamu ne kololiini guyitibwa “munnyo”(salt). Ku nsi kuliko sodiyamu mungi ddala. Sodiyamu asinga ku nsi yetabuddemu kololiini okukola omunyo era amerengukidde mu mazzi ga semayanja.